John 1:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange nali simumanyi; naye kye kyandeeta okubatiza n'amazzi, ye alyoke ayolekebwe Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nange nnali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n’amazzi, ndyoke mulage eri abantu ba Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange saamumanya: naye nze najja nga mbatiza na mazzi, ye alyoke ayolesebwe eri Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nange nali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n'amazzi, ye alyoke amanyibwe abantu ba Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange saamumanya: naye ayolesebwe Isiraeri, kyennava njija nga mbatiza n'amazzi.