John 1:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowanna n'ajulira nti: “Nalaba Mwoyo ng'akkirira ng'ava mu ggulu ng'enjiibwa, n'amubeerako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yokaana Omubatiza n’abategeeza nga bwe yalaba Mwoyo Mutukuvu ng’akka okuva mu ggulu ng’ali ng’ejjiba n’abeera ku Yesu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yokaana n'abategeeza ng'agamba nti, “Nnalaba Omwoyo ng'ava mu ggulu ng'ejjiba; n'abeera ku ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowanne n'ayatula ng'agamba nti: “Nalaba Mwoyo ng'ava mu ggulu, ng'afaanana ng'enjiibwa, ng'akka ku ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yokaana n'ategeeza ng'agamba nti Nnalaba Omwoyo ng'ava mu ggulu ng'ejjiba; n'abeera ku ye.