John 1:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze nange nali simumanyi, naye oli eyantuma okubatiza n'amazzi ye yaŋŋamba nti: ‘Gw'onoolaba Mwoyo ng'amukkako n'amubeerako, nga ye wuuyo abatiza ne Mwoyo Mutuukirivu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abagamba nti, “Nze saamutegeera, kyokka Katonda bwe yantuma okubatiza yaŋŋamba nti, ‘Bw’olabanga Mwoyo Mutukuvu ng’akka n’abeera ku muntu, nga oyo, ye Kristo abatiza ne Mwoyo Mutukuvu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange saamumanya; naye yantuma kubatiza na mazzi, ye yaŋŋamba nti, ‘Ggw'oliraba Omwoyo ng'akka ng'abeera ku ye, oyo ye abatiza n'Omwoyo Omutukuvu.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze nali sinnamumanya, wabula Katonda eyantuma okubatiza n'amazzi, ye yaŋŋamba nti: ‘Gw'oliraba nga Mwoyo akka n'abeera ku ye, ye wuuyo abatiza ne Mwoyo Mutuukirivu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange saamumanya: naye eyantuma okubatiza n'amazzi, ye yaŋŋamba nti Ggwe oliraba Omwoyo ng'akka ng'abeera ku ye, oyo ye abatiza n'Omwoyo Omutukuvu.