John 1:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'alaba Yezu ng'ayita, n'agamba nti: “Wuuyo, akaliga ka Katonda!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’ayitawo ng’atambula. Yokaana n’amutunuulira enkaliriza n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga wa Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'atunuulira Yesu ng'atambula, n'agamba nti, “Laba, Omwana gw'endiga owa Katonda!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'alaba Yesu ng'atambula, n'agamba nti: “Laba Omwana gw'Endiga owa Katonda wuuyo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'atunuulira Yesu ng'atambula, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda!