John 1:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'akebuka, n'alaba nga bamugoberera, n'abagamba nti: “Munyoonya ki?” Ne bamugamba nti: “Rabbi (ekivvuunulwa nti Muyigiriza), obeera wa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yakyuka n’abalaba nga bamugoberera n’ababuuza nti, “Mwagala ki?” Ne bamuddamu nti, “Labbi” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”), “obeera wa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'akyuka n'abalaba nga bamugoberera, n'abagamba nti, “Munoonya ki?” Ne bamugamba nti, “Labbi” (amakulu gaakyo nti Omuyigiriza), “osula wa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'akyuka n'atunula emabega, n'abalaba nga bamugoberera, n'ababuuza nti: “Munoonya ki?” Ne bamuddamu nti: “Rabbi, osula wa?” (Rabbi, amakulu gaakyo, Muyigiriza).
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'akyuka n'abalaba nga bamugoberera, n'abagamba nti Munoonya ki? Ne bamugamba nti Labbi (amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Omuyigiriza), osula wa?