John 1:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amutwala eri Yezu. Yezu n'amwekaliriza, n'agamba nti: “Ggwe Simoni, mutabani wa Yowanna; kale onooyitibwanga Kefa,” – ekivvuunulwa nti 'Petero'.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Andereya n’atwala Simooni eri Yesu. Yesu bwe yeetegereza Simooni, n’amugamba nti, “Ggwe Simooni omwana wa Yokaana, kale onooyitibwanga Keefa,” amakulu nti Peetero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amuleeta eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti, “Ggwe Simooni omwana wa Yokaana: onooyitibwanga Keefa,” (amakulu gaalyo nti Peetero, eritegeeza nti Olwazi).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aleeta Simooni eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti “Ggwe Simooni, omwana wa Yona, onooyitibwanga Keefa” (Keefa ye Peetero, ekitegeeza nti “Lwazi”).
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amuleeta eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti Ggwe Simooni omwana wa Yokaana: onooyitibwanga Keefa, (amakulu gaalyo bwe litegeezebwa nti Peetero).