John 1:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwaddako n'ayagala okugenda e Galilaaya, n'asisinkana Filippo, n'amugamba nti: “Ngoberera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, “Ngoberera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olunaku olwaddako Yesu n'asalawo okugenda e Ggaliraaya, n'asanga Firipo, n'amugamba nti, “Ngoberera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'asalawo okugenda e Galilaaya. N'asanga Filipo, n'amugamba nti: “Yitanga nange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olunaku olwaddako yayagala okuvaayo okugenda e Ggaliraaya, n'alaba Firipo: Yesu n'amugamba nti Ngoberera.