John 1:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Filippo n'asanga Natanayeli, n'amugamba nti: “Musa gwe yawandiikako mu Kitabo ky'Etteeka, n'abalanzi gwe baawandiikako tumugguseeko, Yezu ow'e Nazareti mutabani wa Yozefu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, “Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Firipo n'alaba Nassanayiri n'amugamba nti, “Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, Yesu, omwana wa Yusufu, ow'e Nazaaleesi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Filipo n'asanga Natanayili, n'amugamba nti: “Oyo Musa gwe yayogerako mu Kitabo ky'Amateeka, era n'abalanzi gwe baayogerako mu bye baawandiika, tumulabye. Ye Yesu ow'e Nazaareeti.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Firipo n'alaba Nassanayiri n'amugamba nti Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, Yesu, omwana wa Yusufu, ow'e Nazaaleesi.