John 1:50 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'ayanukula nti: “Okkiriza kubanga nkugambye nti nakulabye wansi w'omukunyu? Ojja kulaba n'ebisinga kw'ekyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’amugamba nti, “Okkiriza kubanga nkugambye nti nkulabye ng’oli wansi w’omutiini? Oliraba n’ebisinga awo obukulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kubanga nkugambye nti nkulabye mu mutiini okkirizza? Oliraba ebikulu okukira ebyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amugamba nti: “Okkirizza olw'okuba nga nkugambye nti nakulabye ng'oli wansi w'omuti omutiini? Oliraba ebisinga ebyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu n'amugamba nti Kubanga nkugambye nti nkulabye mu mutiini okkirizza? oliraba ebikulu okukira ebyo.