John 10:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mbagambira ddala mazima nti atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, n'awalampa ayingirire awalala, omuntu oyo mubbi, munyazi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ddala ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye n’alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo ye mubbi era omunyazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo ye mubbi era omunyazi.