John 10:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akolerera empeera, atali musumba yennyini, endiga nga si zize ku bubwe, bw'alaba omusege nga gujja, endiga azireka awo n'adduka; omusege ne gulumba endiga ne guzibunya emiwabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw'alaba omusege nga gujja, aleka endiga n'adduka, n'omusege guzisikula guzisaasaanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo alundira empeera, atali musumba era atali nnannyini ndiga, bw'alaba omusege nga gujja, endiga azireka n'adduka, omusege ne guzirumba, ne guzisaasaanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw'alaba omusege nga gujja, aleka endiga n'adduka, n'omusege guzisikula guzisaasaanya.