John 10:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali abunzigyako, wabula nze mbuwaayo ku bwange. Nnina obuyinza obw'okubweddiza. Ekiragiro ekyo nakiggya wa Taata.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali abunziggyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw'okubuwaayo, era nnina obuyinza obw'okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nnakiweebwa Kitange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali abunzigyako, nze mbuwaayo nzennyini. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddiza. Ekyo Kitange kye yandagira okukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali abunziyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw'okubuwaayo, era nnina obuyinza obw'okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nakiweebwa Kitange.