John 10:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abaddamu nti: “Nabalaga ebikolwa ebirungi bingi okuva ewa Taata; kikolwa ki ku ebyo kye munnanga okunkuba amayinja?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abagamba nti, “Mwalaba ebyamagero bingi Kitange bye yankozesa, kiruwa ku ebyo kye musinziirako okunkuba amayinja?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abaddamu nti, “Emirimu mingi emirungi egyava eri Kitange nnagibalaga mmwe; mulimu guluwa mu egyo ogubankubya amayinja?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'abagamba nti: “Mwalaba ebirungi bingi Kitange bye yansobozesa okukola. Kiruwa ku byo kye musinziirako okunkuba amayinja?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abaddamu nti Emirimu mingi emirungi egyava eri Kitange nagibalaga mmwe; mulimu guluwa mu egyo ogubankubya amayinja?