John 10:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Okukukuba amayinja tetukulanga kikolwa kirungi, tukulanga kuvuma Katonda; kubanga ggwe omuntu obuntu weefuula Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Tetukuvunaana lwa birungi by’okola wabula lwa kubanga ovvoola; ggwe oli muntu buntu naye weeyita Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuvvoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Tetukukuba mayinja lwa birungi by'okola, naye lwa kuvvoola Katonda, era kubanga ggwe omuntu obuntu, weefuula Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayudaaya ne bamuddamu nti Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuvvoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda.