John 10:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oba mbikola, nga nze temwagala kunzikiriza, byo ebikolwa mubikkirize, lwe munaamanya ne mutegeera nti Taata ali mu nze nange ndi mu Taata.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye obanga nkola by’ayagala, newaakubadde Nze temunzikiriza waakiri mukkirize ebyo bye nkola mulyoke mutegeere nti Kitange ali mu Nze, era nange ndi mu Kitange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe ngikola, newakubadde nga temunzikiriza nze, naye mukkirize emirimu: mumanye mutegeere nga Kitange ali mu nze nange mu Kitange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oba nga mbikola, newaakubadde Nze temunzikiriza, waakiri mukkirize ebyo bye nkola, mulyoke mumanye era mutegeere nga Kitange ali mu Nze, nga nange ndi mu Kitange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe ngikola, newakubadde nga temunzikiriza nze, naye mukkirize emirimu: mumanye mutegeere nga Kitange ali mu nze nange mu Kitange.