John 10:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bangi ne bajja gy'ali. Baagambanga nti: “Yowanna kituufu teyakolayo kabonero na kamu, naye byonna Yowanna bye yayogera ku ono byali bya mazima.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bangi ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Yokaana teyakola byamagero, naye buli kimu kye yayogera ku muntu ono kyali kya mazima.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bangi ne bajja gy'ali; ne bagamba nti, “Yokaana teyakola kabonero: naye byonna Yokaana bwe yayogera ku ono byali bya mazima.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bangi ne bajja gy'ali, ne bagamba nti: “Yowanne teyakola byewuunyo, kyokka byonna Yowanne bye yayogera ku ono bya mazima.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bangi ne bajja gy'ali; ne bagamba nti Yokaana teyakola kabonero: naye byonna Yokaana bye yayogera ku ono byali bya mazima.