John 11:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliwo omusajja omu eyali alwadde, Lazaro ow'e Betaniya ekibuga kya Marita ne Mariya muganda we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya n’alwala. Besaniya ky’ekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo waaliwo omuntu eyali omulwadde, Lazaalo ow'e Bessaniya, mu mbuga Malyamu ne Maliza muganda we mwe baali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuntu ayitibwa Laazaro, eyali e Betaniya, n'alwala. Betaniya kye kibuga Mariya ne muganda we Marita mwe baali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo waaliwo omuntu eyali omulwadde, Lazaalo ow'e Bessaniya, mu mbuga Malyamu ne Maliza muganda we mwe baali;