John 11:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mariya ye wuuyo eyasiiga Omukama omuzigo ogw'akawoowo n'amusiimuula ebigere n'enviiri ze; Lazaro omulwadde nga ye mwannyina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa ku bigere n’abisiimuuza enviiri ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta n'amuttaanya ebigere n'enviiri ze; ye yalina mwannyina Lazaalo eyali alwadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mariya oyo, ye yasiiga Mukama waffe omuzigo ogw'akawoowo ku bigere, n'abisiimuuza enviiri ze, era ye yali mwannyina wa Laazaro omulwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malyamu oyo eyasiiga Mukama waffe amafuta n'amuttaanya ebigere n'enviiri ze ye yalina mwannyina Lazaalo eyali alwadde.