John 11:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwamala okwogera ebyo, n'agenda, n'ayita Mariya muganda we mu kaama, n'amugamba nti: “Omuyigiriza ali wano, akuyita.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Maliza bwe yamala okwogera ebyo, n’ava eri Yesu n’agenda eri Maliyamu n’amuzza ku bbali mu kyama ng’agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yamala okwogera bw'ati, n'agenda, n'ayita muganda we Malyamu kyama, ng'agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Marita bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda n'ayita muganda we Mariya, n'amugamba mu kyama nti: “Omuyigiriza azze, akuyita.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamala okwogera bw'ati, n'agenda, n'ayita muganda we Malyamu kyama, ng'agamba nti Omuyigiriza azze, akuyita.