John 11:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayudaaya abaali naye mu nnyumba nga bamukubagiza, bwe baalaba ng'asituse mangu n'afuluma, nabo ne bamugoberera nga balowooza nti yali agenda ku ntaana akaabireyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayudaaya abaali bazze okukubagiza abaali mu nnyumba ne Maliyamu bwe baamulaba ng’ayimiridde mangu ng’afuluma ne bamugoberera ne balowooza nti agenda ku ntaana akaabire eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abayudaaya abaali naye mu nnyumba, nga bamukubagiza, bwe baalaba Malyamu ng'ayimiridde mangu okufuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti agenda ku ntaana okukaabira eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayudaaya abaali ne Mariya mu nnyumba nga bamukubagiza, bwe baalaba ng'asituse mangu n'afuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti alaga ku ntaana, akaabire eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abayudaaya abaali naye mu nnyumba, nga bamukubagiza, bwe baalaba Malyamu ng'ayimiridde mangu okufuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti agenda ku ntaana okukaabira eyo.