John 11:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mariya bwe yatuuka awaali Yezu, bwe yamulaba, n'agwa ku bigere bye, nga bw'amugamba nti: “Mukama, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Maliyamu bwe yatuuka awali Yesu n’afukamira ku bigere bye, nga bw’agamba nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Malyamu bwe yatuuka Yesu gy'ali n'amulaba, n'agwa ku bigere bye, n'amugamba nti, “Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mariya bwe yatuuka awali Yesu, n'amulaba, n'agwa kumpi n'ebigere bye, n'amugamba nti: “Ssebo, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Malyamu bwe yatuuka Yesu gy'ali n'amulaba, n'agwa ku bigere bye, n'amugamba nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.