John 11:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abamu mu bo ne bagamba nti: “Ono eyazibula amaaso omusajja eyazaalibwa nga muzibe, abadde tayinza kulobera ono kufa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, lwaki teyaziyiza musajja ono kufa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abamu ku bo ne boogera nti, “Omuntu ono, eyazibula amaaso ga muzibe w'amaaso teyayinza kulobera ono okufa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abamu ku bo ne bagamba nti: “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, teyandiyinzizza kubaako ky'akola, Laazaro n'atafa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abamu ku bo ne boogera nti Omuntu ono, eyazibula amaaso ga muzibe w'amaaso teyayinza kulobera ono okufa?