John 11:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'agamba nti: “Ejjinja muliggyeko.” Marita mwannyina w'omufu n'amugamba nti: “Mukama, kati awunya, kubanga luno lwa kuna ng'afudde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’agamba nti, “Muggyeewo ejjinja.” Naye Maliza, mwannyina w’omufu, n’amugamba nti, “Kaakano awunya nnyo, kubanga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'agamba nti, “Muggyeewo ejjinja.” Maliza, mwannyina w'oli eyafa, n'amugamba nti, “Mukama wange, kaakano awunya: kubanga yaakamala ennaku nnya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'agamba nti: “Muggyeewo ejjinja.” Marita mwannyina w'omufu, n'agamba Yesu nti: “Ssebo, kaakano awunya, kubanga amaze ennaku nnya!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'agamba nti Muggyeewo ejjinja. Maliza, mwannyina w'oli eyafa, n'amugamba nti Mukama wange, kaakano awunya: kubanga yaakamala ennaku nnya.