John 11:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yawulira n'agamba nti: “Obulwadde obwo tebuzze kumalira mu kufa, wabula lwa kitiibwa kya Katonda, mu bwo Omwana wa Katonda agulumizibwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu bwe yakitegeera n’agamba nti, “Ekigendereddwa mu bulwadde buno si kufa, wabula kulaga kitiibwa kya Katonda, era n’okuweesa Omwana wa Katonda ekitiibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti, “Obulwadde buno si bwa kufa wabula olw'ekitiibwa kya Katonda, Omwana wa Katonda abe n'ekitiibwa olw'obwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yesu bwe yawulira, n'agamba nti: “Ekigendereddwa mu bulwadde buno, si kufa, wabula kitiibwa kya Katonda, era Omwana wa Katonda bujja kumuweesa ekitiibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti Obulwadde buno si bwa kufa wabula olw'ekitiibwa kya Katonda, Omwana wa Katonda abe n'ekitiibwa olw'obwo.