John 11:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne baggyako ejjinja. Yezu n'ayimusa amaaso n'atunula waggulu, n'agamba nti: “Taata, nkwebaza kubanga ompulidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baggyawo ejjinja. Awo Yesu n’atunula waggulu n’agamba nti, “Kitange nkwebaza olw’okumpulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'ayogera nti, “Kitange, nkwebaza kubanga wampulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'agamba nti: “Kitange, nkwebaza kubanga ompulidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'ayogera nti Kitange, nkwebaza kubanga wampulira.