John 11:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne bakuŋŋaanya olukiiko, ne bagamba nti: “Tunaakola ki! Kubanga omuntu ono akola obubonero bungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuuza olukiiko ne bagamba nti, “Tukole ki? Kubanga omuntu ono akola ebyamagero bingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne batuuza olukiiko, ne bagamba nti, “Tukole tutya? Kubanga omuntu oyo akola obubonero bungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne batuuza olukiiko, ne bagamba nti: “Tukole ki? Omuntu ono akola ebyamagero bingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋanya olukiiko, ne bagamba nti Tukole tutya? kubanga omuntu oyo akola obubonero bungi.