John 11:55 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pasika y'Abayudaaya yali kumpi n'okutuuka, abantu bangi ne bava mu byalo eyo ne bambuka e Yeruzaalemu nga Pasika tennatuuka beetukuze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Embaga y’Abayudaaya ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, abantu bangi ne bava mu byalo ne bambuka e Yerusaalemi okukola omukolo ogw’okwetukuza ng’embaga tennatuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka: bangi abaava mu byalo ne balinnya e Yerusaalemi okwetukuza ng'Okuyitako tekunnatuuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embaga y'Abayudaaya Ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, bangi ne bava mu byalo, ne bambuka e Yerusaalemu, okukola omukolo ogw'okwetukuza, ng'Embaga tennatuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka: bangi abaava mu byalo ne balinnya e Yerusaalemi Okuyitako nga kukyali, beerongoose.