John 11:56 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamagamaga Yezu; ne bagambagana nga bayimiridde awo mu Kiggwa nti: “Mulowooza mutya, ono anajja ku mbaga enkulu oba tajje?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali bakuŋŋaanidde mu Yeekaalu, ne banoonya Yesu, ne beebuuzaganya nti, “Mulowooza mutya? Yesu tajje ku mbaga?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu ne bamunoonya, ne boogera bokka na bokka, nga bayimiridde mu Yeekaalu, nti, “Mulowooza mutya? Tajje ku mbaga?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne banoonya Yesu. Era nga bakuŋŋaanidde mu Ssinzizo, ne beebuuzaganya nti: “Mulowooza mutya? Tajje ku Mbaga?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu ne bamunoonya, ne boogera bokka na bokka, nga bayimiridde mu yeekaalu, nti Mulowooza mutya? Tajje ku mbaga?