John 11:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Rabbi, Abayudaaya baabano babadde bakunoonya kukukuba mayinja, ate oddeyo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, “Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gy’odda?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Muyigiriza, Abayudaaya baali baagala kukukuba mayinja, ate eyo gy'oyagala okudda?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayigirizwa ne bamugamba ati Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda?