John 11:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'addamu nti: “Essaawa ez'emisana teziri kkumi na bbiri? Omuntu bw'atambula emisana, teyeesittala, kubanga alaba ekitangaala ky'ensi eno.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Essaawa ez’emisana ziwera kkumi na bbiri, era omuntu bw’atambula emisana teyeesittala kubanga aba alaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'addamu nti, “Essaawa ez'emisana si kkumi na bbiri (12)? Omuntu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba omusana ogw'ensi eno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'addamu nti: “Essaawa ez'emisana teziba kkumi na bbiri? Omuntu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba ekitangaala ky'ensi eno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu nti Essaawa ez'emisana si kkumi na bbiri? Omuntu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba omusana ogw'ensi eno.