John 12:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne baddira ensansa ez'enkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti: “Hosanna! Agulumizibwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama, Kabaka wa Yisirayeli!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bakwata amatabi g’enkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti, “Ozaana.” “Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.” “Ye Kabaka wa Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne batwala ensansa ez'enkindu ne bagenda okumusisinkana, ne boogerera waggulu nti, “Ozaana: aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama, ye Kabaka wa Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bakwata amatabi g'enkindu, ne bagenda okumusisinkana, ne baleekaana nti: “Mukama atenderezebwe! Ajja mu linnya lya Mukama, aweereddwa omukisa. Ye Kabaka wa Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne batwala ensansa ez'enkindu ne bagenda okumusisinkana, ne boogerera waggulu nti Ozaana: aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama, ye Kabaka wa Isiraeri.