John 12:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo; naye Yezu bwe yamala okugulumizibwa, awo ne bajjukira ng'ebyo byali bimuwandiikiddwako era byamukolwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ebintu ebyo ebyali bimuwandiikiddwako, ne bye baamukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo abayigirizwa be tebaabitegeera olubereberye: naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ng'ebyo byamuwandiikwako, era nga baamukola bwe batyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira, ng'ebyo byawandiikibwa nga bifa ku ye, era nga baabimukolera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo abayigirizwa be tebaabitegeera olubereberye: naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ng'ebyo byamuwandiikwako, era nga baamukola bwe batyo.