John 12:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafarisaayo ne bagambagana nti: “Mulabe nga bwe mutalina kye mufunyeemu; yiino ensi eggweredde gy'ali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abafalisaayo ne bagambagana nti: “Mulabye bwe tutalina kye tufunyeemu! Laba ensi yonna emugoberedde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafalisaayo ne boogeragana nti, “Mulabe bwe mutalina kye mugasizza; laba, ensi zonna zimusenze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abafarisaayo ne bagambagana nti: “Mulabe bwe tulemeddwa! Ensi yonna emusenze!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abafalisaayo ne boogeragana nti Mulabe bwe mutalina kye mugasizza; laba, ensi zonna zimusenze.