John 12:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ampeereza, angoberere; nze we ndi n'omuweereza wange w'alibeera. Buli aliba ampeerezza Taata alimuwa ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo ampeereza, angoberere. Nze w’endi n’omuweereza wange w’anaabeeranga era Kitange alimuwa ekitiibwa oyo ampeereza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu bw'ampeereza, angobererenga; nange gye ndi, eyo omuweereza wange naye gy'anaabeeranga: omuntu bw'ampeereza, Kitange alimussaamu ekitiibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo ampeereza, angoberere. Nze we ndi, n'omuweereza wange w'anaabeeranga. Kitange aliwa ekitiibwa oyo ampeereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'ampeereza, angobererenga; nange gye ndi, eyo omuweereza wange naye gy'anaabanga: omuntu bw'ampeereza, Kitange alimussaamu ekitiibwa.