John 12:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kaakano omutima gwange gutabanguse. Nkyagamba ki? Taata, mponya akadde kano? Nedda, anti akadde kano kyenvudde nkatuukako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano omutima gwange gweraliikiridde. Kale ŋŋambe ntya? Nsabe nti Kitange mponya ekiseera kino? Naye ate ekyandeeta kwe kuyita mu kiseera kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kaakano omwoyo gwange gweraliikiridde; era njogere ntya? Kitange, ndokola okunzigya mu kiseera kino. Naye kyennava ntuuka mu kiseera kino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kaakano omutima gwange gweraliikiridde, era njogere ki? Ŋŋambe nti: ‘Kitange, mponya akaseera kano?’ Naye ate ekyandeeta, kwe kuyita mu kaseera kano ak'okubonaabona!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaakano omwoyo gwange gweraliikiridde; era njogere ntya? Kitange, ndokola okunziya mu kiseera kino. Naye kyennava ntuuka mu kiseera kino.