John 12:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Mariya n'akwata laatiri emu ey'omuzigo narudo ogw'omuwendo omunene, n'agusiiga ebigere bya Yezu, n'abisiimuuza n'enviiri ze. Ennyumba n'ebuna akawoowo k'omuzigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Maliyamu n’addira eccupa erimu amafuta amalungi ag’akaloosa ag’omugavu, ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku bigere bya Yesu n’abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba yonna n’ejjula akaloosa k’amafuta ago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Malyamu n'addira laatiri ey'amafuta ag'omugavu, ag'omuwendo omungi ennyo, n'agisiiga ku bigere bya Yesu, n'attaanya ebigere bye n'enviiri ze: ennyumba n'ejjula akaloosa ak'amafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mariya n'addira eccupa erimu omuzigo omulungi oguyitibwa narudo, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo, n'agusiiga ku bigere bya Yesu, n'abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba n'ejjula akawoowo ak'omuzigo ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Malyamu n'addira laatiri ey'amafuta ag'omugavu, ag'omuwendo omungi ennyo, n'agisiiga ku bigere bya Yesu, n'attaanya ebigere bye n'enviiri ze: ennyumba n'ejjula akaloosa ak'amafuta.