John 12:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina ne kimuddamu nti: “Ffe mu tteeka twawulira nga Kristu alibeera wa lubeerera. Kale ggwe ekikugambya nti Omwana w'Omuntu ateekeddwa okuwanikibwa waggulu kiki? Omwana w'Omuntu oyo ye ani?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti, “Ffe tumanyi okuva mu mateeka nti Kristo aba mulamu emirembe gyonna. Naye ggwe lwaki ogamba nti Omwana w’Omuntu kimugwanira okufa? Mwana wa Muntu ki oyo gw’oyogerako?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekibiina ne kimuddamu nti, “Ffe twawulira mu mateeka nti Kristo abeereraawo emirembe n'emirembe: naawe kiki ekikugambya nti, Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa? Oyo Omwana w'omuntu ye ani?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekibiina ky'abantu ne kimuddamu nti: “Ffe mu Mateeka twawulira nti Kristo wa kubeerawo emirembe n'emirembe. Ate ggwe lwaki ogamba nti Omwana w'Omuntu ateekwa okusitulibwa? Omwana w'Omuntu oyo ye ani?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekibiina ne kimuddamu nti Tetwawulira mu mateeka nti Kristo abeerera awo emirembe n'emirembe: naawe kiki ekikugambya nti Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa? Ono Omwana w'omuntu ye ani?