John 12:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Ekitangaala kikyali nammwe akabanga katono; mutambule nga mukyalina ekitangaala, ekizikiza kireme kubakwata; anti atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Omusana gujja kwongera okubaakira okumala akaseera. Kale mugutambuliremu mugende gye mwagala ng’ekizikiza tekinnatuuka. Atambulira mu kizikiza tamanya gy’alaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'abagamba nti, “Esigaddeyo ebiro bitono ng'omusana gukyali gye muli. Mutambule nga mukyalina omusana, ekizikiza kireme okubakwatira mu kkubo: atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Ekitangaala kinaabeera nammwe okumala ekiseera kitono. Mutambule nga mukyalina ekitangaala, ekizikiza kireme kubakwatira mu kkubo, kubanga atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'abagamba nti Esigaddeyo ebiro bitono ng'omusana gukyali gye muli. Mutambule nga mukyalina omusana, ekizikiza kireme okubakwatira mu kkubo: atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda.