John 12:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo Yisaaya kye yayogera kiryoke kituukirire nti: “Ayi Mukama, ani yakkiriza bye baawulira okuva gye tuli? N'omukono gw'Omukama ani gwe gwayolekebwa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire ekigamba nti, “Mukama ani akkiriza bye tugamba? Ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire, kye yayogera nti, “Mukama, ani eyakkiriza ebigambo byaffe?” Era omukono gwa Mukama gubikkuliddwa ani?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekigambo kya Yisaaya omulanzi ne kituukirira, ekigamba nti: “Mukama, ani yakkiriza bye tugamba? Era Mukama yalaga ani obuyinza bwe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire, kye yayogera nti Mukama, ani eyakkiriza ebigambo byaffe? Era omukono gwa Mukama gubikkuliddwa ani?