John 12:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso era bangi, nandibadde mu bakungu, ne bamukkiriza; naye nga tebakyatula olw'okutya Abayudaaya, sikulwa nga bagobebwa mu sinaagooga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era waaliwo bangi ne mu bakulembeze b’Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw’okutya Abafalisaayo, tebaamwatula, baleme kugobebwa mu kkuŋŋaaniro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bangi ne mu bakulu abaamukkiriza, naye olw'okutya Abafalisaayo tebaayatula, baleme okugobebwa mu kkuŋŋaaniro:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sso era bangi mu bakungu Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw'okutya Abafarisaayo, tebaakyatula, baleme okugobwa mu kkuŋŋaaniro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mu bakulu bangi abaamukkiriza, naye olw'Abafalisaayo tebaayatula, baleme okugobebwa mu kkuŋŋaaniro: