John 12:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate buli awulira ebigambo byange n'atabikwata, si nze mmulamula, kubanga sajja kulamula nsi, wabula okulokola ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awulira ebigambo byange n’atabifaako, Nze simusalira musango, kubanga Nze najja kulokola nsi so si kugisalira musango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye awulira ebigambo byange, n'atabikwata, nze simusalira musango: kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okulokola ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awulira ebigambo byange n'atabikolerako, Nze simusalira musango, kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okugirokola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye awulira ebigambo byange, n'atabikwata, nze simusalira musango: kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okulokola ensi.