John 12:48 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli angaya n'atakkiriza bigambo byange, alina alimulamula; ekigambo kye njogedde kye kirimulamula ku lunaku olw'oluvannyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka buli agaana Nze era n’agaana n’ebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olw’enkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Agaana nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusalira omusango: ekigambo kye nnayogera kye kirimusalira omusango ku lunaku olw'enkomerero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Agaana Nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusalira omusango. Ebigambo bye nayogera bye birimusalira omusango ku lunaku olw'enkomerero,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Agaana nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusalira omusango: ekigambo kye nnayogera kye kirimusalira omusango ku lunaku olw'enkomerero.