John 12:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga nze soogedde ku bwange, wabula Taata eyantuma yennyini ye yandagira kye mba ŋŋamba ne kye mba njogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Nze bye njogera si byange, ku bwange, naye mbategeezezza ebya Kitange bye yandagira okubategeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga saayogeranga nze ku bwange; naye Kitange eyantuma, ye yandagira bye nteekwa okugamba era n'okwogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Nze saayogeranga ku bwange, wabula Kitange eyantuma, ye yandagira bye nteekwa okugamba, n'okwogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga saayogeranga nze ku bwange; naye Kitange eyantuma, ye yandagira bwe ŋŋamba, era bwe njogera.