John 12:50 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era mmanyi ng'ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo. Awo nno bye njogera, mbyogera nga Taata bwe yabiŋŋamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mmanyi nti by’alagira bwe bulamu obutaggwaawo. Noolwekyo ky’aŋŋamba kye mbategeeza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange mmanyi ng'ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo: kale nze bye njogera, nga Kitange bwe y'abiŋŋamba, bwe ntyo bwe njogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mmanyi ng'ekiragiro kye, bwe bulamu obutaggwaawo. Kale Nze bye njogera, mbyogera nga Kitange bwe yabiŋŋamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange mmanyi n'ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo: kale nze bye njogera, nga Kitange bwe yaŋŋamba, bwe ntyo bwe njogera.