John 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo yakyogera si lwa kubeera ng'abaavu yali abassaako omwoyo, wabula kubanga yali mubbi; ye yayitanga n'ensawo; bye baasuulangamu ng'abitwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayogera bw’atyo si lwa kuba nti yali alumirwa nnyo abaavu, wabula Lwa kubanga yali mubbi. Yatwalanga ensimbi ezaaterekebwanga mu nsawo y’ensimbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale yayogera bw'atyo, si lwa kulumirwa baavu; naye kubanga yali mubbi, ye yakwatanga ensawo, n'atwalanga bye baateekangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yayogera ekyo, si lwa kulumirwa baavu, wabula kubanga yali mubbi. Ye yakwatanga ensawo, era bye baateekangamu, ng'abitwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale yayogera bw'atyo, si lwa kujjukira abaavu; naye kubanga yali mubbi, ye yayambaliranga ensawo, n'atwalanga bye baateekangamu.