John 12:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kinene eky'Abayudaaya ne kitegeera ng'ali awo, ne bajja, si lwa kubeera Yezu yekka, naye n'okulaba Lazaro Yezu gwe yali azuukizza mu bafu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekibiina kinene eky’Abayudaaya bwe bategeera nti Yesu ali Besaniya, ne bajja, si Lwa Yesu yekka, naye n’okulaba Laazaalo, Yesu gwe yazuukiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekibiina kinene eky'Abayudaaya ne bategeera nti Yesu ali Bessaniya, ne bajja si ku lwa Yesu yekka, era naye balabe ne Lazaalo, gwe yazuukiza mu bafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekibiina kinene eky'Abayudaaya, ne kitegeera nti Yesu ali Betaniya. Ne kijja, si lwa Yesu yekka, naye n'okulaba Laazaro, Yesu gwe yazuukiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakopi ab'omu Bayudaaya ne bategeera nti gyali: ne bajja si ku lwa Yesu yekka, era naye balabe ne Lazaalo, gwe yazuukiza mu bafu.