John 13:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka soogera ku mmwe mwenna; nze be nalonda mbamanyi; naye Ebiwandiiko kye bigamba kituukirire nti: “ ‘Oyo eyagabana ku mugaati gwange anneefuulidde.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu bino byonna sibyogera nammwe mwenna, buli omu ku mmwe be nalonda mmumanyi; ekyawandiikibwa kituukirire ekigamba nti, ‘Oyo bwe tulya emmere anneefuukidde!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Soogedde ku mmwe mwenna: nze mmanyi be nnalondamu: naye ekyawandiikibwa kituukirire nti Alya ku mmere yange ye annyimusiza ekisinziiro kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Soogera ku mmwe mwenna. Nze mmanyi be nalondamu. Naye ekyawandiikibwa kiteekwa okutuukirira nti: ‘Alya ku mmere yange, anneefuukidde.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Soogedde ku mmwe mwenna: nze mmanyi be nnalondamu: naye ekyawandiikibwa kituukirire nti Alya ku mmere yange ye annyimusiza ekisinziiro kye.