John 13:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekyo nkibagambye kati nga tekinnabaawo; bwe kinaagwawo mulyoke mukkirize nti nze nzuuyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino nkibategeeza okuva kaakano, nga tekinnabaawo, bwe kinaabaawo mulyoke munzikirize.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusooka leero mbabuulira nga tekinnaba kubaawo, era ne bwe kiriba, mulyoke mukkirize nga nze nzuuyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino nkibabuulira kaakano nga tekinnabaawo, bwe kinaamala okubaawo, mulyoke mukkirize nti Ye Nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okusooka leero mbabuulira nga tekinnaba kubaawo, era ne bwe kiriba, mulyoke mukkirize nga nze nzuuyo.