John 13:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali ku kyeggulo, Sitaani ng'amaze okusenseza mu mutima gwa Yuda Yisikariyoti mutabani wa Simoni eky'okumulyamu olukwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali balya ekyekiro, Setaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti, omwana wa Simooni, ekirowoozo eky’okulya mu Yesu olukwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baali balya emmere ey'ekyeggulo Setaani nga yamaze dda okuweerera Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni mu mutima gwe okumulyamu olukwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baali balya kyaggulo. Sitaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda omwana wa Simooni Yisikaryoti, ekirowoozo eky'okulyamu Yesu olukwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baali balya emmere ey'ekyeggulo Setaani nga yamaze dda okuweerera Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni mu mutima gwe okumulyamu olukwe,