John 13:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbagambira ddala mazima nti ayaniriza buli yenna gwe mba ntumye, aba ayanirizza nze; ate buli annyaniriza aba ayanirizza Oli eyantuma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala mbagamba nti buli asembeza gwe ntuma, ng’asembezezza Nze, era asembeza Nze ng’asembezezza oyo eyantuma.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddala ddala mbagamba nti Asembeza buli gwe ntuma, ng'asembezza nze: era asembeza nze ng'asembezezza oli eyantuma.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima ddala mbagamba nti ayaniriza buli gwe ntuma, aba ayanirizza nze, ate ayaniriza nze, aba ayanirizza oli eyantuma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddala ddala mbagamba nti Asembeza buli gwe ntuma, ng'asembezza nze: era asembeza nze, ng'asembezezza oli eyantuma.